1.
Julie nga otunuza bukambwe
Nga nkutya okkamala
Nga nnyinza ntya ye okwogera
Nti mukwano nkulowooza
Lumu nnakulaba
Nga oli ne mikwano gyange
Bwe nnasembera mbabuuzeko,
Ate ggwe n’ovaawo!
Nnasigala ntangadde
Ng’omutima ogututte
Nga nneewuunya
Omutonzi ono maama,
Oh, oh, ebirowoozo
Nga byesomba mu nze
Nga tuli mu mukwano omuzibu
Ng’ensi tugyefuze
Nneesekerera ate
Nga bwe mpimapima ggwe
Oh, oh, n’ennyambala yo
Nga ndaba sikusaanira
Kye nneewunya nze,
Ye mulungi nga ggwe
Ne by’olina bye ssitenda
Wasalawo obe nange.
N’osuubiza nti tolinsuula
Ne nsuubiza ntyo
Nga kye ndyako nawe ky’olyako
Ssanyu teribeerera.
Chr:
Kambe naawe
Nnasalawo mu mutima
Ka nsuubire naawe
Mu mutima gwo wasiima nze
Nga tolyekyusa
Ebizibu nga bintuuse
Nga ggwe ssuubi lyokka
Lye nnina mukwano.
2.
Kati obulamu bwakyuka
Mmanyidde kuba naawe
Abalala abo beewale
Baliwo kutwawula
Ggwe ssuubi lye nnina
Abalya nnyingi bannema
Baaki abanansuula ku maggwa
B’oliisa abatakkuta
Mmanyi ne bwenfuna akatono
Olimba ku lusegere
Olibeera nange ne ŋŋuma
Ssanyu teribeerera
N’osuubiza nti tolinsuula
Ne nsuubiza ntyo
Nga ke ndyako naawe k’olyaako
Mukwano Julie
Chr:
Till fade.
No comments:
Post a Comment